AIGP Asan Kasingye bwe yali ayogerako eri abatuuze.
Nga bino tebinnabaawo, nga June 26, omuvubuka Moses Kalikwani 30, abadde abeera e Kitubulu yatemuddwa mu bukambwe omulambo ne guzuulibwa mu kibira kya Kayirira.
Omulambo gwasangiddwa nga gutemeddwaako omutwe, nga bamuggyeemu ebyenda, omutima ate nga asaliddwaako n’obusajja.
Ettemu lino lyakwasizza omusamize Godfrey Lukabya olw’ebigambibwa nti eyatemuddwa abadde abeera ku ssabo lye ono nga alina by’amujjanjaba.
Poliisi yategeezezza nti ono yamugguddeko omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba Sd Ref 40 /26/06/2019 asobole okugiyambako mu kunoonyereza.
Obutemu ku ababiri bano, bwawezezza omuwendo gw’abantu abakunukkiriza mu 20 mu kitundu ky’e Ntebe abazze batemulwa mu bukambwe mu myaka ebiri.
Nga January 29, 2019, omuwala Lydia Namirimu eyali atemera mu myaka 25 yattibwa.
Poliisi yasooka okukola okunoonyereza kyokka n’eremererwa okubaako gw’ekwata kyokka oluvannyuma kyateeberezebwa nti omuwala ono yandiba atemuddwa muganzi we Peter Nsubuga kubanga oluvannyuma naye yasangibwa yesse.
Ettemu lino lyatandika okunyiinyiitira ku kittabakazi mu 2017. Mu mwaka ogwo abakyala 12 mu bitundu by’e Ntebe be battibwa era bano kigambibwa nti battibwa mu bbanga eryali wansi w’emyezi etaano gyokka.
Wabula n’okutuusa esaawa ya leero, poliisi yalemererwa okuzuula abatemu abaali batta abakyala bano n’okuzuula ekigendererwa kyabwe oluvannyuma lwa kkooti okwejereza abantu basatu poliisi be yali etaddeko eky’okutta abakyala bano.
Ku battibwa mu ttemu lino e Ntebe kwaliko Sarah Nelima 22, Harriet Nantongo, Aisha Nakasinde 25 eyali omutuuze we Garuga omulambo gwe gwazuulibwa nga August 18 e Kasenyi.
Norah Wanyana 17 eyali omuyizi ku Airforce e Ntebe omulambo gwazuulibwa July 21 mu lusuku lw’omutuuze omu e Nkumba Central, Rose Nakimuli eyali ow’e Kitala nagwo gwazuulibwa July 24 e Kitala.
Gorreti Nansubuga 19, yali mutuuze w’e Kasenyi omulambo gwazuulibwa nga August 8 nga gusuuliddwa mu kibira e Kasenyi, Sarah Nakajjo yali mutuuze e Kasenyi ye omulambo gwazuulibwa nga August 11 mu kibira e Kasenyi, Aisha Kasowole ono yali malaaya era naye yattibwa mu ngeri y’emu.
Faith Komugisha eyali omutuuze e Kitubulu, waliwo n’omuwala omulala ataategeerekeka mannya nga omulambo gwe naye gwazuulibwa mu August.
ABENG’ANDA BAKKUKKULUMA
Bba wa Nakasinde omu ku battibwa, Francis Bahati yategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lwa mukyalawe obudde okuziba nga tannadda ka, yatandikirawo okweraliikirira era n’atandika okunoonya buli we yali amusuubira kyokka n’atamulaba okutuusa lwe baazuula omulambo.
Bahati agamba nti tamanyi kyassa mukyala we kubanga yali tawulirangako luyombo wadde okumufunako amawulire nti yali abaliga.
Essuubi limuli mu poliisi okuzuula abantu abatta mukyala we n’ensonga kwebasinziira.
Bahati era mwennyamivu eri poliisi okumulimba olw’eyali aduumira poliisi mu kiseera ekyo Gen. Kayihura okusuubiza nti yali wa kusisinkana abaafiirwa baliyirirwe olw’okufiirwa abantu baabwe ekitaatuukirizibwa!
KKOOTI OKWEJJEEREZA ABAKWATE
Poliisi yakola alipoota nti abaali batta abakazi bano baali beekuusa ku kabinja ka Illuminati. Baakwata omugagga Ivan Katongole, Andrew Kizito ne Hellen Nabaggala nga be baali bagambibwa nti beenyigira mu kutemula Rose Nakimuli, baaleetebwa mu mbuga z’amateeka wabula omulamuzi wa kkooti Enkulu mu Kampala Wilson Kwesiga n’abejjeereza nga agamba nti poliisi yalemererwa okuleeta obujulizi obumatiza nti bano be batemu.