Omubaka wa Parliamenti owe Ntungamo alaalise okuwawaabira Gavumenti lwa kugaba bukadde 40:

By Musasi wa Bukedde

 

Added 18th May 2020

 

Omubaka Karuhanga owe Ntungamo, Western Uganda

 

OMUBAKA wa munisipaali ye Ntungamo, Gerald Karuhanga alaalise okuddayo mu kkooti awawaabire Gavumenti olw’okuwa ababaka ba Palamenti 317 buli omu obukadde 40 nga babeebaza okuyisa ekiteeso ekisiima Pulezidenti Museveni.

 

Karuhanga yagambye nti alina obukakafu obulaga nti buli mubaka eyawagira ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti yafunye ku ssente zino.

Ekyakoleddwa yagambye nti kyagendereddwaamu okuddiza ababaka oluvannyuma lwa kkooti okubalemesa obukadde 20 ezaali zibaweereddwa Palamenti.

 

 

The state house trying to sort out money for the MPs of Uganda.
 

Ababaka okuli Karuhanga, Theodore Ssekikubo ( Lwemiyaga) ne Monicah Amoding ( Kumi munisipaali) baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku Palamenti ne balumiriza ababaka okufuna ssente zino kumpi ne wooteri ya Kati Kati mu Kampala.

Baagambye nti oluvannyuma lwa Palamenti okuyisa ekiteeso ekiraga obutali bumativu olw’engeri Pulezidenti gy’atassaamu Palamenti kitiibwa, ababaka ate baaleese ekiteeso ekisiima Pulezidenti olwa kaweefube gw’atadde mu kulwanyisa ekirwadde kya Corona .

Ekyaddiridde kwabadde kubagabira obukadde 40 buli muntu. Baalumirizza nti ssente zino era zaagendereddwaamu kugulirira ababaka baleme kuwagira nnongoosereza ezireetebwa mu tteeka erifuga ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF. Ennongoosereza zaagala abakozi abaatereka mu NSSF baweebwe ebitundu 20 ku 100 ku ssente ze balinayo basobole okuyita mu mbeera eno.

Nampala wa Gavumenti , Ruth Nankabirwa yawakanyizza eby’okugabira ababaka obukadde 40 n'ategeeza nti tebiriiyo.

Ababaka ababyogera yagambye nti boogeza nsaalwa oluvannyuma lw’okulaba nga Palamenti eyisizza ekiteeso ekisiima Pulezidenti. Kyokka Karuhanga agamba nti alina bwino amala ku nsonga eno. “Nga kkooti bwe yataasa ku bukadde 20, ne ku bukadde 40 ejja kutaasa ssente y'omuwi w'omusolo ereme kwonoonebwa nga tutunula,” Karuhanga bwe yaweze.

Nb

Awo no President tajja kubayita abebakira mu Parliamenti ya Uganda olutatadde!