Mu 2017 poliisi yafuna emisango 252,065 so nga mu 2016 gyali 243,988 ekiraga nti gyalinnya ebitundu 3.3%.
Mu lipoota eno, abantu 4473 be baafa mu 2017 bwogeraageranya ne 4316 abaafa mu 2016. Omwaka ogwo gwasaanikirwa nnyo obutemu omuli abaakubwa amasasi, abeebijambiya naddala e Masaka n’ekittabakazi e Nansana n’e Ntebe.
Mu kwanjula lipoota ekwata ku buzzi bw’emisango, akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Grace Akullo yagambye nti abantu 164 be battibwa nga bakubiddwa amasasi oluvannyuma lw’okulumbibwa abazigu omwali n’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we, Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Wambewa abattibwa nga March 17, 2017 e Kulambiro.
Mu battibwa nga bakubiddwa amasasi kwaliko abasajja 144, abakazi 14 n’abaana 6.
Yagambye nti abantu 603 bw battibwa mu kutwalira amateeka mu ngalo ate abantu 372 ne battibwa oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu maka ng’okutta mu mbeera eno kwali nnyo e Kamwenge, Kyenjojo, Mbarara, Rakai , Kakagi ne Ntungamo.
Yategeezezza nti ezimu ku nsonga ezivuddeko ettemu kuliko enkaayana z’ettaka, obutakkaanya mu maka, okuvuganya mu by’obusuubuziwamu n’okulwawo okufuna obwenkanya mu kusala emisango mu kkooti.
Akullo yagambye nti poliisi era ekyalina okusoomoozebwa okunoonyereza ku bubbi obutambulira ku mikutu mugattabantu kuba emisango poliisi gy’efunye egy’ekika kino ng’abantu bafiiriddwa ssente ezisoba mu buwumbi 169.
DISITULIKITI EZISINZE OKUBAAMU EMISANGO
1. Lira erina emisango 7,872, 2. Ntungamo 6,839, 3. Mbarara 5,096, 4. Gulu 4,731, 5. Mpigi 4,539, 6. Arua 4,261, 7. Mbale 3,857, 8. Kibuku 3,836, 9. Gomba 3,809, 10. Tororo 3,651 (ng’eno omuduumuzi wa poliisi, Okoth Ochola gy’ava.) Disitulikiti y’e Mbarara okuva 2011 tevanga ku lukalala olwo.
EMISANGO EGITANOONYEREZEBWANGAKO
2014 emisango 122,733 2015 emisango 101,904, 2016 emisango 95,270 2017 emisango 105,017 Kino kivudde ku kubeera ng’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kirina abasirikale batono.
EMISANGO EGISINZE OKUZZIBWA MU 2017
Okusobya ku bakazi 1,335, Egyekuusa ku ttaka 469, Okufuna ebintu mu lukujukujju 12,771, Obutalabirira baaana 10,021, Okubba ssente 7,878, Okwonoona ebintu 8,078, Okutisatiisa 13,474.