In Uganda, where violent crime is on the increase, hundreds have come out to mourn a murdered social worker Nagirinya:

By Stuart Yiga

 

Added 1st September 2019

 

Ssentamu called upon the authorities to ensure that the assailants who orchestrated the gruesome murder are apprehended.

 

Ma01 703x422
 
 The late Nagirinya's parents. PHOTOS: Stuart Yiga
 
Relatives and friends turned up in big numbers at St. Peter's Parish Church, Nsambya, to attend a requiem mass for the fallen social worker, Maria Nagirinya. The mass was led by Rev. Pius Male Ssentamu.
 
Ssentamu called upon the authorities to ensure that the assailants who orchestrated the gruesome murder are apprehended.
 
After the mass, Maria's body was laid to rest at her ancestral burial grounds at Kibuye, a city suburb in Makindye Division, while her driver, Ronald Kitayimbwa, was laid to rest in Kalubanda village, Miramba Parish, in Kibinge Sub County, in Bukomansimbi, district.
 

 At the time of her death, Maria was an Assistant Project Manager in charge of Water and Sanitation at Community Integrated 

 
Development Initiative (CIDI), a local NGO. She was kidnapped from her home in Lungujja community zone, Rubaga Municipality, and her body was recovered in Nakitutuli village in Nama sub-county, Mukono district, along Mukono Kayunga road on Thursday.

  

She attended Towers Nursery School, Namagunga Primary Boarding School, St. Joseph's School-Nsambya (for 'O'Level), Kings College Buddo (For 'A' 'level) and later joined 
 
Makerere University. In 2013, she completed her first degree, and in 2015 she finished the second one.
 

  

She got married to Edgar Gateni, a businessman based in Dubai, in August 2018, and died on August,29,2019.
 
Her husband said the deceased was also carrying her six months fetus.
  

 The sombre Christian service

 


 The husband of Maria, Mr Edgar Getani
 
 
 
 
 

 

 

Eyalabye nga bawamba Nagirinya akaabizza abakungubazi:

By Musasi wa Bukedde

 

Added 2nd September 2019

 

OMUWALA eyabaddewo nga bawamba Maria Nagirinya akaabizza abakungubazi ng’attottola engeri abatemu gye baakutte Maria ne bamukkatira mu mmotoka ne bamutwala gye baamuttidde ne ddereeva we!

 

Ef11c425ef0047d0a1c864ec0464a3b8 703x422

The late M/s Mary Naggirinya 

 

Kakazi kattu kaalaajanye nti, “Basajja mmwe temutwala muganda wange….” Ne katuuka n’okwekiika mu maaso g’emmotoka nga bwe kakoonakoona “bboneti” naye abasajja ne basimbula emmotoka nga bagizza emabega, ne baweta ne bafuumuula emmotoka.

 

Bena Nakidde mu myaka gye emito yabadde muvumu, n’agoba emmotoka ekiro ekyo nga bw’akuba enduulu ng’ayita abantu badduukirire, wabula teri yavudde mu nnyumba okukkakkana nga Maria ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa batwaliddwa abasajja abaabawambidde ku geeti y’amaka Maria w’abadde asula e Lungujja mu Kampala.

Emirambo gyabwe gyazuuliddwa oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga gisuuliddwa okumpi n’omugga Nakitutuli mu ggombolola y’e Najja mu Mukono.

 

Emmotoka ya Maria ye yasoose okuzuulibwa ng’esuuliddwa e Nateete. Kiteeberezebwa nti abatemu baabadde n’emmotoka eyaabwe eyabadde esimbiddwa mu kabanga katono okuva we baawambidde Maria.

Abaamuwambye baakozesezza bodaboda eyabatuusizza ku kikomera kya Maria we baamuteeze ne bamuwamba ng’alinze okumuggulira.

Abeebyokwerinda bateebereza nti abatemu bwe baavuze emmotoka ya Maria baagenze butereevu we baabadde basimbye eyaabwe era ne baggyamu Maria ne ddereeva Kitayimbwa ne babateeka omwo, olwo eya Maria ne bagisuula e Nateete era kino kyakaluubirizza abeebyokwerinda kubanga baasoose kugoberera obuwuufu bw’abatemu nga babwesigamya ku mmotoka ya Maria.

Kitayimbwa eyattiddwa ne Maria abadde avuga bodaboda, kyokka ng’olumu avuga Maria okumuzzaayo eka mu mmotoka naddala nga Maria ava e Nalumunye gy’abadde alina mikwano gye bwe babadde batera okugendako bonna mu bifo ebisanyukirwamu.

Ku mulundi guno Maria yamukubidde n’amutegeeza nti teyeewulira bulungi era n’amuyita amuvugeko amuzzeeyo eka.

Abakungubazi baategeezeddwa nti ku Lwokusatu, Maria yasiiba teyeewulira bulungi era n’asaba mukwano gwe Jane Ndibazza “jaketi” n’agyambala.

Amaziga gaayiise kumpi mu buli mukungubazi eyabadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi eggulo mu Klezia ya St. Peter’s e Nsambya nga Bena Nakyejwe muto wa Maria, attottola ebyabaddewo mu kiro ky’Olwokusatu abatemu we baamuwambidde.

Nb
Omuddugavu wano e Buganda kiringa anatandika okukola nga abantu abaddugavu nabantu abeeru be South Africa bwebakola okwejjako ebisiraani byokuttingana. Abantuuze bano batuula nebakola akakiiko ka Truth and Reconciliation. Buli mutuuze navaayo nayogera nga bwawulira kubikolwa byobufuzi nokuttingana. Okusinga kakati wano e Uganda bwekifuuse okubbangana obululu, okukwatagana ebigwo, nokusibagana emiguwa, nokukomerera emisumaali, nokusalangana obulago okuttingana okutuusa Isa Masiya bwalikomawo!